2 Chronicles 14:6-7

6 aN’azimba ebibuga ebiriko bbugwe mu Yuda, era ne wataba n’omu eyayaŋŋanga okulwana naye, kubanga Mukama yamuwa okuwummula ku njuyi zonna.

7N’agamba Yuda nti, “Tuzimbe ebibuga bino, tubiteekeko bbugwe, ne wankaaki n’emitayimbwa. Ensi ekyali yaffe, kubanga tunoonyezza Mukama Katonda waffe; tumunoonyezza, n’atuwa emirembe ku buli luuyi.” Ne bazimba era ne bagaggawala.
Copyright information for LugEEEE